Job 13

1“Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna,
n’okutu kwange ne kuwulira ne mbitegeera.
2 aKye mumanyi nange kye mmanyi;
siri wa wansi ku mmwe.
3 bNaye neegomba okwogera n’oyo Ayinzabyonna,
era n’okuleeta ensonga zange mu maaso ga Katonda.
4 cNaye mmwe mumpayiriza;
muli basawo abatagasa mmwe mwenna!
5 dKale singa musirika!
Olwo lwe mwandibadde n’amagezi.
6Muwulire kaakano endowooza yange,
muwulirize okwegayirira kw’emimwa gyange.
7 eKatonda munaamwogerera nga mwogera ebitali bya butuukirivu?
Munaamwogerera eby’obulimba?
8 fMunaamulaga ng’ataliiko luuyi,
munaamuwoleza ensonga ze.
9 gSinga akukebera, anaakusanga oli bulungi?
Oyinza okumulimba nga bw’oyinza okulimba abantu?
10Tayinza butakunenya,
singa osaliriza mu bubba.
11 hEkitiibwa kye ekisukiridde tekyandikutiisizza?
Entiisa ye teyandikuguddeko?
12Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu,
n’okwewolereza kwammwe kwa bbumba.
13Musirike nze njogere;
kyonna ekinantukako kale kintuukeko.
14Lwaki neeteeka mu mitawaana,
obulamu bwange ne mbutwalira mu mikono gyange?
15 iNe bw’anzita, mu ye mwe nnina essuubi,
ddala ddala nditwala ensonga zange mu maaso ge.
16 jDdala kino kinaavaamu okusumululwa kwange,
kubanga teri muntu atatya Katonda ayinza kwetantala kujja mu maaso ge!
17 kMuwulirize ebigambo byange n’obwegendereza;
amatu gammwe gawulire bye ŋŋamba.
18 lKaakano nga bwe ntegese empoza yange,
mmanyi nti nzija kwejeerera.
19 mWaliwo ayinza okuleeta emisango gye nvunaanibwa?
Bwe kiba bwe kityo, nzija kusirika nfe.
20Ebintu ebyo ebibiri byokka by’oba ompa, Ayi Katonda,
awo sijja kukwekweka.
21 nNzigyako omukono gwo,
olekere awo okuntiisatiisa n’okunkangakanga.
22 oKale nno ompite nzija kukuddamu,
oba leka njogere ggwe onziremu.
23 pNsobi meka era bibi bimeka bye nkoze?
Ndaga ekibi kyange era n’omusango gwange.
24 qLwaki okweka amaaso go,
n’onfuula omulabe wo?
25 rOnoobonyaabonya ekikoola ekifuuyiddwa omuyaga?
Onooyigga ebisasiro ebikaze?
26 sKubanga ompadiikako ebintu ebiruma,
n’ondeetera okuddamu okwetikka ebibi byange eby’omu buvubuka.
27 tOteeka ebigere byange mu nvuba,
era okuuma butiribiri amakubo gange mwe mpita
ng’oteeka obubonero ku bisinziiro by’ebigere byange.
28 uBw’atyo omuntu bw’aggwaawo ng’ekintu ekivundu,
ng’olugoye oluliiriddwa ennyenje.”
Copyright information for LugEEEE